Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 317 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

17 bafiiridde mu kabenje e Pakwach

January 14, 2019 · Mubiru Ali

Kitalo! Abantu 17 bebagambibwa okuba nga bafiiridde mu kabenje mu Disitulikiti y’e Pakwach olunaku lw’eggulo ku ssaawa bbiri n’ekitundu ez’ekiro ku kyalo Got Malara, kilometers 2 okuva mu tawuni y’e Panyimur e Pakwach.

Bano babadde batambulira ku motoka ekika kya FUSO nnamba UAV 118S eyalemeredde omugoba waayo ku kaserengeto bwetyo neggwa nga yabadde ettisse abasuubuzi b’ebyennyanja nga abasinga bava Aliwara ekirinaanye ensalo ya Uganda ne Democtratic Republic of Congo  nga babadde bagenda mu katale e Panyimur

Kigambibwa nti abakyala abasoba mu 10 bebafiiriddewo mbulaga. Emirambo wamu n’abo abalumiziddwa ennyo batwaliddwa e Panyimur Health Center 3 ne Angal Hospital.