Wuuno omukazi eyamyuka ngettungulu alaajanidde abasajja mu nsi…
Wuuno omukazi eyamyuka ng’ettungulu alaajanidde abasajja mu nsi yonna waveeyo omu ajje amuwasa kuba akooye okuba yekka mu kazigo ke era singa wabula omusajja ajja okumuwasa nti agenda kwekolako ekabi.
Wuuno omusajja masiikiini aliko obulemu nga yali mwavu lubojje ng’atuula ku makubo ne bamuyamba ne bamusuulira ssente kati Nnagagga awedde emirimu alina ebintu ebikalu ate era n’okuwola awola ensimbi kyokka obwasiikiini akyabuleddemu akyatuula ku kkubo okumuwa okulaajanira abantu bamuwe ssente.
Oooo……eyo y’ensi! Byonna birinde mu Kunigga mu Kyewuunyisa ku 11:00a.m-12:00p.m


