Wiiki eno wefundikiridde ngOmulamuzi wa Kkooti e Masaka alagidde emibiri okuli ogwa Bosco Ssenyonjo aka Bitanda nabaana be 2 okuli Nankindu
🗳️ Wiiki eno wefundikiridde ng’Omulamuzi wa Kkooti e Masaka alagidde emibiri okuli ogwa: Bosco Ssenyonjo aka Bitanda n’abaana be 2 okuli: Nankindu Sherina ne Simon Ssenyojo Trevor gitwalibwa mu Ggwanika ly’Eddwaliro e Kitovu okutuusa ku Lwokuna nga 26-March lwanaawa ensala ye ku wa bano gyebanaziikibwa oluvannyuma lw’Aboluganda okulemererwa okutuuka ku nzirikiriziganya ne Nnamwandu.
Namwandu ayagala baziikibwe mu maka gebadde bazimba e Kaddugala so nga Ab’Ekika ne Maama w’Omugenzi baagala baziikibwe e Kyalusowe.
Kino kikuwa kyakuyiga ki?
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

