Watoto Church ku mulundi guno Christmas Cantanta emutadde…
Watoto Church ku mulundi guno “Christmas Cantanta” emutadde mu kisaawe kye Ssomero lya Old Kampala.
Bino byalangiriddwa Abasumba ba Watoto mu lukungaana lwa Banamawulire lwebakubye mu Kampala nga bakunga abantu ba Katonda okugenda okulaba omuzannyo ogulagibwa mu biseera bya Ssekukulu kati okumala emyaka 40.
Bano Bategezeza nti era bagenda kukolezza Christmas tree esinga obuwanvu mu Ggwanga ng’esobola okulabibwa abantu bona mu Kampala ku busozi 7.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

