Waliwo ebbago eirggya erya The Protection of Sovereignty Bill, 2025 ngalino ligenderera kuluŋŋamya ku nsimbi eziva ebweru wEggwanga wamu nEnsi
🗳️ Waliwo ebbago eirggya erya ‘The Protection of Sovereignty Bill, 2025’ ngalino ligenderera kuluŋŋamya ku nsimbi eziva ebweru w’Eggwanga wamu n’Ensi z’ebweru okweyingiza mu byobufuzi by’Eggwanga. Kuliko ebibonerezo eby’amaanyi ebiteereddwawo nga singa linayita bino byebibonerezo: Okutumbula ebiruubirirwa by’Amawanga amalala osasula engasi ya ‘currency points’ 100,000 bwebuwumbi 2 oba okusibwa okutuukira ddala ku myaka 20. Okukola nga agenti w’omugwiira nga tewewandiisa engasi ya ‘currency points 50,000 oba okusibwa emyaka 10.
Emivuyo mu byokulonda oba okulemesa emirimu gya Gavumenti: ‘currency points 100,000 oba okusibwa emyaka 20 ku muntu ssekinoomu ate ebitongole ‘currency points 200,000.
Okutaataganye eby’enfuna gamba nga okwenyigira mu bikolwa ebikosa eby’enfuna by’Eggwanga.
Ebbago lino liwa obuyinza Gavumenti okuwaliriza omuntu oba ekitongole okuwaayo ensimbi eziba zifuniddwa mu makubo agatali matuufu, okuwamba ebintu ebikalu, ssente oba eby’obugagga ebyekuusa ku kumenya etteeka lino. Gavumenti egamba

