Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 354 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Olukiiko olukulembera abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja, lusisinkanye Katikkiro

February 22, 2024 · Mubiru Ali
Olukiiko olukulembera abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja, lusisinkanye Katikkiro ne lumwanjulira enteekateeka zaabwe ez’okwekulaakulanya.
Ssalongo Kiwutta Robert Ssenkasi Kakeeto, Ssentebe w’abavubuka mu Kika ky’Omutima omuyanja, nga yakulembeddemu olukiiko luno, agambye nti ezimu ku nsonga ezireese ewa Katikkiro kuliko;
Okweyanjula nga abakulembeze b’Abavubuka mu Kika Katikkiro mwava, Okumusiima emyaka 10 nga akutte ddamula, Okuyunga olutindo wakati wabavubuka mu Bika bya Buganda ne Gavumenti ya Kabaka.
Mu bubaka bwe, Katikkiro abategeezezza nti,
>). Basaana okwenyigira mu nteekateeka z’Ekika mu myaka gyabwe egy’e kivubuka.
>). Batuule nga mu nkiiko z’ennyiriri, amasiga n’Ebika.
>). Beenyigire mu kusoma, babeere bayiiya, era beewale okwekubagiza.
>). Asabye abavubuka mu Buganda bakole emirimu nga beesimbu.
Abasiimye olwokwesowolayo okuweereza ekika Kyabwe.
Nga bazzukulu ba Namugera Kakeeto, abasabye bateeke amaanyi mu kuzimba ekizimbe ky’Ekika ku ttaka lye Mutundwe.