vpn efiirizza gavumenti buwumbi – ucc

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Ggwanga ekya Uganda Communications Commission kivuddeyo nekitegeeza nga bwefiiriddwa obutitimbe bwa ssente obuwerera ddala obuwumbi bubiri mu myezi esatu oluvannyuma lw’okutongoza omusolo Over the Top Tax(OTT) ku mikutu gya Social Media okuli Facebook, Twitter, WhatsApp, Skype, Viber ne Instagram.

Kino kivudde ku Bannayuganda okusalawo okukozesa Virtual Private Networks(VPNs) era nga gusalise okuva ku buwumbi 5.6 obwakunganyizibwa mu July okudda ku buwumbi 3.9.

Akulira ekitongole kino Godfrey Mutabaazi avuddeyo nategeeza nti Gavumenti egenda kuvaayo ne tekinologiya agenda okulemesa abakozesa VPN newankubadde nga ne Kkampuni zivaayo ne tekinologiya ow’enjawulo agezaako abasobozesa okulemesa ebiteekebwawo Gavumenti okubalemesa.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply