BREAKING NEWS
MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year MBU: Alien Skin’s dangerous bike stunts worry fans after latest accident Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rulinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso Pulse Uganda: Nameere served election petition through newspapers after refusing court notice

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Ssegiriinya Muhammad alimukattu, muto wa Kirumira agamba abafeze

Ssegiriinya Muhammad amanyiddwa nga Eddoboozi ly’e Kyebando nga councilor ku Lukiiko lwa KCCA nga akiikirira Kawempe North yavaayo nga 10-Sept-2018 ku mukutu gwe ogwa Face Book oguli mu mannya ga Ssegirinya Muhammad FANS PAGE nategeeza nti; “Members mwebale nnyo Fees ziwedde eza third term for late Kirumira’s children” Era bwatyo nateekayo ebifaananyi bya receipt z’essomero erya Elianah Nursery and Primary School Bulenga nga alaga nti buli mwana yamusasulidde akakadde kamu (1,000,000/=). Yateekayo Receipts nga alaga nti yasasulira Naggayi Sophia ne Nalukenge Saudah.

Wabula ab’ennyumba ya Kirumira nga bakuliddwamu Muganda we Mahad Adams Asooka ku mukutu gwe ogwa Face book nawandiika bwati:

‘Mr. Vote Ssegirinya MP

“Newuunyiza ekikolwa kino kyewakooze nogenda okola receipts ze somero eritaliiyo be bulenga nofuna amanya gabaana ba mukulu wange era no postinga nga bwozisasudde seebo webale nyo kasita nawe olina abaana.
Kino kyembagamba masima ono omwami tatukyaliranganako kya tufiirwa ate era nesomera teririyo munsi lino wabula ye yafunye ne stamp nalimba ensi. Mukama nsaaba okuzemu omutima Bambi. Awakaana nkubiraako”

Radio Simba bweyogeddeko ne Mahad agamba nti Ssegirinya amukubidde essimu ku WhatsApp nga amusaba ebintu abisiimuleyo ku Face Book bajja kwogera week ejja nga avudde eberu gyali kati. Mahad agamba nti n’essomero Ssegiriinya lyayogerako teririyo e Bulenga.

Mahad agamba nti bukyanga Kirumira afa, Ssegiriinya talinyangako mu muka g’omugenzi.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply