Ssaabasajja Kabaka asiimye naalonda olukiiko olufuzi olw’Abataka oluggya

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalonda olukiiko olufuzi olw’Abataka oluggya. Lukulemberwa omukulu w’Ekika ky’Ekkobe Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba.
Olukiiko luyimiridde bweruti;
2). Omutaka Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi – Memba
3). Omutaka Kidimbo Grace Kizito Bakyayita – Memba
4). Ssaababiito we Kibulala Sam Walugembe – Memba
5). Omutaka Nakigoye Samson Nabbimba – Memba
6). Omutaka Muteesaasira Keeya Ttendo Namuyimba – Memba
7). Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa – Memba
Mu bbaluwa eteereddwako omukono Omuwandiisi wa Ssaabasajja Kabaka omukulu ow’ekyama eri Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Ssaabasajja asiimye amannya Omutaka Namwama geyamuweereza mu Lubiri era abo abaalondebwa Omutanda asiimye babeere ku lukiiko olufuzi olwa Ssaabataka oluggya.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply