Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye naweereza Obuganda obubaka bwAmazuukira ga Yesu Kristo 2026.
🗳️ Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye n’aweereza Obuganda obubaka bw’Amazuukira ga Yesu Kristo 2026.
Nnyinimu yebazizza Katonda asobozesezza abantu be okutuuka ku lunaku lw’okujjukira amazuukira ga Kristo.
Beene asabye olunaku luno lujjukize buli muntu omukwano n’obusaasizi Katonda by’alina eri abantu be. Asabye buli omu okujjukira obuvunaanyizibwa bwe mu maka, ebitongole bya Gavumenti n’Ebyokwerinda okukola ebiyamba abantu.
Maasomoogi alaze obwennyamivu okuba nti Gavumenti ssente z’ekozesa ziva mu mi solo abantu gye bawa kyokka obuweereza eri abantu naddala mu malwaliro ne buba nga tebumatiza.
Ssaabataka alaze obwetaavu obweyongedde mu byobulamu; amalwaliro omutali bikozesebwa, emmotoka ezitambuza abalwadde abayizi okubeera entono naddala mu byalo, nga n’ewamu teziriiyo, ewalala zaafa; ebyuma ebyagulibwa kyokka nga tebikozesebwa, amasanyalaze agavaako entakera, bino byonna byongera omuwendo gw’abantu abafiirwa obulamu.
Ssaabasajja agamba nti enteekateeka y’ebibuga ebitegekeddwa obulungi nnun

