97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

ssaabasajja asiimye nakola enkyuukakyuka

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakola enkyuukakyuuka mu kabineeti y’e Mengo mwakyuusirizza basajja be. Mubakyuusiddwa kuliko; Apollo Nelson Makubuya, abadde omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Buganda ng’ono kati afuuliddwa muwi wa magezi, Nelson Kawalya , abadde Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda bamusudde ttale. Ekifo kino akitaddemu Kaggo Patrick Luwagga Mugumbule, ye abadde Ssaabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda Daudi Mpanga afuuliddwa muwi wa magezi n’asikizibwa Christopher Bwanika, Kyewalabye Male, abadde akulira Buganda Land Board alidde obwaminista w’Ebyobuwangwa n’Ennono ( avunaanyizibwa ku bulambuzi, Oluganda , ebifo ebyenkizo, embiri, amasiro n’ebyokwerinda.

About Mubiru Ali

Leave a Reply