Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 666 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Bamusse lwakutta mwana wa P.7

April 18, 2017 · Mubiru Ali

Mu Disitulikiti ey’ e Kumi mu buvanjuba bwa Yuganda, omusajja ow’emyaka 65  ateeberezebwa okutta omwana owoobulenzi nga amulanga kukkira kawala ke ak’emyaka 13 n’anyumya nako aka Kyagera, naye abatuuze bamutabukidde nebamumiza omusu.

Amyuka RDC w’ e Kumi, Eric Ssakwa agamba nti omulambo gw’omulenzi Paranta abadde mu kibiina ekyomusanvu mu Kumi Pulayimale School gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga kino okubaawo wabadde wayise ennaku ssati nga omusajja Corcus Odere okulabula nti sings omulenzi ono tava ku muwalawe ajjakikolawo ekintu.

Ssakwa agamba nti oluvannyuma lw’okuziika omulenzi ono ate abatuuze kwebaakubye eriiso nga ye musajja Corcus Odere agobye era n’akataayi tekaasaze nebamumiza omusu .