sk mbuga atwaliddwa e denmark okwongera okuwozesebwa

Omugagga w’omu Kampala, SK Mbuga aggyiddwa mu kkomera e Dubai mu United Arab Emirates n’ayongerwayo mu Bulaaya e Denmark gy’anaawozesebwa emisango gy’okunyaga ddoola 2,600,000 mu ddiiru y’okuguza Abazungu zzaabu.

Mbuga, 36, amaze omwaka mulamba mu kkomera lya Al Awiir Central Prison e Dubai. Ensonda zaategeezezza nti yayimbuddwa luvannyuma lwa kusasula obukadde 1,600 (mu za Uganda) ezibadde zimubanjibwa omugagga w’omu Buwarabu.

Mbuga ne mukazi we bavunaanibwa okunyaga ssente ku Muzungu okuva e Sweden era ze zaavaako okumukwata e Dubai. Kyategeezeddwa nti yatwalibwa ku Lwokuna oluwedde era wadde yatuukidde Denmark ajja kuggyibwayo atwalibwe mu Sweden gy’anaawoleza.

Mikwano gya Mbuga gyategeezezza eggulo nti omuntu waabwe yatuuse bulungi mu Bulaaya era naye ategese balooya abakugu okumuwolereza.

Aboobuyinza mu Sweden baasaba UAE okubawa Mbuga bamuwozese olw’okunyaga ssente obukadde 53 eza Kronor (ssente za Sweden ziyitibwa Kronor). Ssente ezo mu za Uganda zenkana obuwumbi 23.

Muka Mbuga ayitibwa Chebet ye yanyaga ssente zino okuva ku muganzi we Omuzungu Sten Heinsoo.

Amawulire mu Sweden gaategeeza omwaka oguwedde nti Gavumenti yaabwe yali esabye Uganda ebawe Mbuga bamuwozese kyokka ne kizuulwa nga tewali ndagaano ya kuzzaayo basibe wakati w’amawanga ago gombi.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply