Pulezidenti w’ekibiina ekitaba abasawo alumbiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Pulezidenti w'ekibiina ekitaba abasawo ba Ddokita mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA) Dr. Obuku addusiddwa mu ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala oluvannyuma lw'okulubibwa abantu abataategeerekese mu kiro ekiyise nebamukuba bubi nnyo.

Police egamba nti Dr. Obuku gyebuvuddeko yeeyakulemberamu abasawo mu malwaliro ga Gavumenti wonna mu ggwanga okwediima olw'emisaala emitono.

Ayogerera Police mu Kampala n'emiriraano, Luke Owesigyira agamba nti Dr. ono yalumbiddwa mu ekiro ekikeesezza leero  ku ssaawa ttaano era baamusanze ku mulyango gw'ekikomera ky'amaka ge agasangibwa e Kitikifumba mu Divizoni y'e Kira ng'alinda kumuggulira nebamukuba era n'essimu ye nebakuuliita nayo .

Dr. Brian Kasagga ayogerera ekibbina ky'abasawo kino agamba nti Dr. Obuku yafunye ebisago eby'amaanyi ku mutwe, ennyindo era n'avaamu n'omusaayi mungi wabula tebannamanya oba baabadde babbi, Bakifeesi obwa abantu abalina ebigendererwa ebirala . 

 

Share.

Leave A Reply