Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Pulezidenti Museveni yawa bazadde baffe eddembe okwegatta – Big Eye

Omuyimbi Big Eye avuddeyo nawandiika ku mukutu gwe ogwa Face book; “Kino kankyogere olwaleero, musaanye mulekerawo okulowooza nti mpagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lwa ssente, EKYO SI KITUUFU, muwagira ng’omuvubuka eyatuula wansi neyefumitiriza wa omusajja ono gyeyajja eggwanga lino, eddembe lyetulina olwaleero, n’ebyo byeyerekereza okugenda mu nsiko natulwanirira.

Eddembe Pulezidenti Museveni lyeyaleeta ne banne eri Bannayuganda y’ensonga lwaki ebitundu 92 ku 100 eby’abavubuka mu Yuganda leero bazaaliddwa era nebakulira ku mulembe ggwe kuba singa eggwanga lyali likyali mu dduka dduka bazadde baabwe tebadifunye budde bunyumya kaboozi okusobola okubazaala.

Abamu ku mmwe mugenda kugitwala nga endowooza ey’ekito naye nga gemazima.

Nina ensonga empagiza Pulezidenti Museveni. Ngenda kuwagira Pulezidenti Museveni ne National Resistance Movement mu 2021”

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort