Poliisi yakukwata anawerekera Bobi Wine ku UN – SP Onyango

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Forceowa Kampala Metropolitan PoliceSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakitegeddeko nti Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka

Bobi Wine enkya yaleero bwatwala okwemulugunya kwe ku offiisi za
United Nations Human Rights esangibwa ku Prince Charles Drive e Kololo mu Kampala. Onyango agamba nti UN yamukirizza kugenda n’abantu 3 bokka nti wabula bafunye amawulire nti Kyagulanyi akunga abawagizi okumuwerekerako mu luseregende e Kololo. Kino kyawerebwa olwa #COVID-19. Ekirala olukusa lwokutambulira mu luseregende luweebwa Muduumizi wa Poliisi mu Ggwanga okusinziira ku Public Order Management Act olutanamuweebwa.
Onyango alabudde Bannayuganda obutenyigira mu kyayise ekikolwa ekimenya amateeka kuba ajja kukwatibwa avunaanibwe.
Share.

Leave A Reply