Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ya Kira ekutte abantu 3 abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa Piki piki

Poliisi ya Kira Road ekutte abantu basatu abagambibwa okubeera ababbi ba piki piki era nenunula piki piki 7 ezabibbwa, ebyuuma ebikozesebwa okumenya ennyumba wamu ne sipeeya wa Piki piki.Abakwatiddwa bagiddwa mu bitundu bya Mulimira ne Kamwokya nga kati bakuumirwa ku Poliisi y’e Ttuba. Abakwatiddwa kuliko; Egweya Solomon 22, nga mutuuze w’e Mpererwe, Odongo Hassan 23, omutuuze w’e Naguru omukuumi mu kkampuni ey’obwannanyini nga yava ku mulimu nga tafunye lukusa ne Ogwang Edward 23 omutuuze w’e Kitintale .Piki piki zino zasangiddwa e Kamwokya, Kyebando ne Mulimira. Essatu ku piki piki zino zabbibwa mu paakingi emu e Kkulambiro.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort