Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte omu ku booda booda agambibwa okukola obulumbaganyi ku motoka za Gavumenti

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omu ku bavuzi ba booda booda abalabibwako mu butambi bwa Kkamera za Poliisi enkettabikolwa nga bakola obulumbaganyi ku motoka za Gavumenti.
Ono gwebataagadde kwatuukiriza mannya yakwatiddwa mu Nansana Municipality mu Disitulikiti y’e Wakiso olunaku lw’eggulo nga beyambisizza kkamera enkettabikolwa okumulondoola nga kati akuumirwa ku Poliisi y’e Katwe.
Eyakwatiddwa muvuzi wa Booda booda ku siteegi ya Ham Towers era bweyalagiddwa ekifaananyi yakirizza nti ddala yalabikira mu kifaananyi ekyo Poliisi kyeyafulumya ku wiikendi era nga n’abalala bakyanoonyezebwa.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort