Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 289 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

poliisi ekutte abantu 9 ku by’okubba piki piki mu kampala n’emiriraano

March 18, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi yakoze ekikwekweto mwezuulidde edduuka erirowoozebwa okuba nga libadde ligula wamu n’okutunda Piki Piki enzibe mu Zooni ya White Nile, e Katwe mu Division y’e Makindye era nekwata n’abantu 8.

Ekikwekweto ekyakulembeddwamu DPC wa Poliisi y’e Katwe SP Rwamusayi Frantile bayazizza amadduuka okuli erya; Mugerwa, Nsubuga Fred aka Kanyama ne Kalangwa aka Jjuko nga kigambibwa nti amadduuka gano gaali gateeka ssente mu babbi ba Piki Piki mu Kampala n’emiriraano.

Banannyini madduuka gano kigambibwa nti babadde bagula piki piki enzibe okuva ku babbi nebazipangulula oluvannyuma nabaddamu nebapangamu Piki piki endala zebafunira ennamba endala n’oluvannyuma nebazitunda mu bintundu by’eggwanga ebirala. Poliisi yazudde spare wa piki piki ezisuubirwa okubeera enzibe wamu ne nnamba za piki piki.