Poliisi e Kayunga ekutte omukozi agambibwa okubba ebintu by’eddwaliro

Ab’obuyinza mu Gombolola y’e Kangulumira mu Disitulikiti y’e Kayunga baliko omukozi mu ddwaliro lya Kangulumira Health Centre IV gwebakutte kubigambibwa nti abadde yenyigira mu kubba eddagala lya Gavumenti eriweerezebwa mu ddwaliro lino.
Ssentongo Samuel ng’akola gwa kuyonja mu Ddwaliro lino kyokka nga mu bantu abadde yeyita Musawo era okumukwaata kigambibwa nti bamusanze n’eganduula z’abasawo zebambala nga bali ku mulimu n’ebokisi ezisoba mu 40 nga zijudde eddagala awamu ne bintu ebirala ebikozesebwa mu Ddwaliro.
Bino byasangiddwa nga abikukulidde mu nnyumba ye gyapangisa ku mutala Kisega-Nakatundu okuliraana amadduuka g’e Kangulumira.
Mu bintu ebisangiddwa mu nyumba kubaddeko; Gloves, amakerenda ga kowatemu, amakerenda agaweweeza ku kirwadde kya sirimu ezimanyiddwa nga ARVs, cotton wool, Maama kits, gauze, empiso, Uniform z’abasawo, Tv ne ntebe z’eddwaliro awamu ne bintu ebirala bingi.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply