Ow’e 82 yeeyimbyemu ogwa kabugu
Namukadde ow’emyaka 82 nga ono mutuuze ku kyalo Kabojjogi ekisangibwa mu East Division mu kibuga ky’e Mubende, Â yeeyimbyemu ogwa kabugu naafa nga kigambibwa nti alemereddwa okwerabirira bw’atyo n’asalawo okweggya mu bulamu bwensi eno.
Omu ku balirwana b’omugenzi, Â Vincent Ssettimba atutegeezezza nti omugenzi ye Matovu John nti era abadde aludde ng’abalaalika nga bw’aggya okwetta olw’embeera y’obulamu okumukaluubirira nga talina muntu yenna amayumba so nga naye teyeesobola.

