97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Owa NRM omulala awanduukuluddwa mu Palamenti lwa mpapula

Omubaka mu Palamenti owa Buyamba esangibwa  mu Disitulukiti y’e Rakai Amos Mandela (NRM)  awanduukuluddwa mu Palamenti lwa mpapula za buyigirize ezoomunguuba .

Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Masaka , Lawrence Gidudu alangiridde ekifo kino nga bwekiri ekikali era n’alagira akakiiko k’eby’okulonda kateeketeeke okulonda okujjuza ekifo .

Mandela okuggyibwa mu Palamenti kiddiridde omusango ogwateekebwayo Ivan Buwowe nga ayita mu Bannamateeka be aba Lukwago and Company   g’ awakanya empapula za Mandela ez’obuyigirize .  

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply