Latest News
0

Owa Bodaboda akubiddwa ennyondo , Ppiki bagitutte – Mityana

Police e Mityana eri ku muyiggo gwa bantu abatannategeerekeka nga bano bakkakkanye ku muvuzi wa Bodaboda nebamukuba ennyondo ku mutwe nebamuttirawo ne Pikipiki nebakyusa nayo. 

Lukyamuzi abadde atemera mu gy'obukulu 30 eyattiddwa abadde okolera e Mityana, abaamusse baamupangisizza abatwale e Ttanda wabula nebamuttira ku kyalo Mbaliga ekiri mu Munisipaali y'e Mityana. 

Nobert Ochom ayogerera Police mu bitundu bya Wamala akakasizza ettemu lino wabula n'asaba abagoba ba Bodaboda okukendeeza ku budde bw'ekiro bwebakola. Kitalo. 

More Similar Posts

Check Featured Posts
Menu