Omwana alina kookolo w’eriiso, Yamba
Asobola Yamba. Omwana wuuno Shakirah Nabukenya myaka 3 yafuna akasaayi ku liiso era baakamulongoosa emirundi esatu e Mengo emirundi ebiri ate ogumu Mulago nekizuulibwa ng’alina kookolo.
Yaasindikibwa ku Cancer Institute e Mulago ayongere okulongoosebwa naye obusobozi kitaawe Bukenya Idi okuva e Mubende tabulaba. Ayamba yita ku 0772910295 . Weebale omutima omusaasizi ggwe ayamba

