Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 357 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

NUP EDUUKIRIDDE ABANTU BE KAMWOKYA ABAKOSEDDWA OMULIRO

July 24, 2021 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga bwayogedde nabakulembeze b’ekibiina okugenda okusaasira abafiiriddwa abantu baabwe mu muliro ogwakutte e Kamwokya negusaanyawo ebintu ebiwerako. Ekibiina era kyaduukiridde abantu bano nemmere bwatyo nasaba abazira kisa gyebali yonna okuyambako ku bantu bano.
Hon. Kyagulanyi era ategeezezza nga ekibiina bwekyabakanye n’eddimu eryokukungaanya obuyambi okuduukirira abantu abakosebwa okwanjaala kwamazzi g’omugga Nyamwamba mu Disitulikiti y’e Kasese nga bwebakola omwaka oguwedde. Agamba nti kino kikolebwa kuyamba Bannayuganda.