Breaking
News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj. News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority URA kyavuddeyo nekyanika omukozi wakyo, Sozzi Geoffrey
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 325 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

abadde minisita w’ebyenjigiriza e mengo awaddeyo ofiisi

March 5, 2019 · Mubiru Ali

Abadde Minisita w’eby’enjigiriza nga kati yalondeddwa okubeera omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita wa ICT, Dr. Twaha Kigongo Kaawaase, yawaddeyo woofiisi eri Minisita eyamudidde mu bigere, Dr Prosperous Nankindu Kavuma. Mu kwogera kwe, Owek Kaawaase yagambye nti ekizibu ekiriwo mu ggwanga y’enkyuukakyuuka y’eby’enjigiriza nga amasomero mangi gatambulira ku nkola ya kuyisa buyisa baana bigezo mu kifo ky’okubayigiriza ekyo kyebalina okukola. (Bangi bayita mu ssomero naye nga essomero teribayiseemu). Ye Owek Nankindu yasabye abakulira ebitongole eby’enjawulo mu minisitule eno okubeera obumu kibasobozese okutuuka ku buwanguzi obw’awamu.