Omuwala ow’emyaka 15 abizaalidde omumyuka wa CAO – Sebei

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu Disitulikiti y’e Sebei egombyemu obwala amyuka akulira abakozi ku Disitulikiti eno  olw’ebigambibwa nti yakaka omwana wa myaka 15 akaboozi k’ekikulu.

Omwogezi wa Police mu bitundu by’e Sebei, Rogers Tayikita agamba nti agombeddwamu obwala ye Jimmy Chelangat nga ono baamuggye mu bbaala emu esangibwa mu Munisipaali y’e Kapchorwa oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva eri abazadde b’omuwala ono.

Okusinziira ku Taata w’omuwala ono, Fred Chemonges  agamba nti Chelangati yalimbalimba muwala we n’amuggya awaka e Tegeres mu Kapchorwa n’amutwala e Kampala mu mwezi gw’okutaano era n’amala naye omwezi mulamba.

Share.

Leave A Reply