97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Omusuubuzi w’e Kampala Humphery Nzeyi alagiddwa okugulawo ekubo lyeyaziba

Omusuubuzi w’e Humphrey Nzeyi avunaanibwa olw’okuziba ekubo nga alemesa balirwana be e Bugoloobi, Nakawa Division.

Ms Beatrice Musisi Yiga yeyawaba mu kakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka nga amuvunaana okuziba ekubo erimutuusa ku makaage. Era amuvunaana okuzimba mu kubo wamu ne kifo ekyali ekyokukola nga parking ye nazimbawo ekikomera n’okusaako geeti.

Wiiki ewedde Omulamuzi Bamugemereire n’abakakiiko wamu n’abakungu okuva mu KCCA bagenda mu kifo kino awali enkayana era nalagira Nzeyi okugulawo geeti wabula Mw. Nzeyi ye agamba nti Muky. Yiga yagaana okuleeta ssente zeyakozesa mukuzimba ekikomera.

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply