97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Omuntu waffe mwamututte wa – Family ya Kawooya

Famire ya Yusuf Kawooya 43 nga akola gwabukinjaaji e Kitintale mu Kampala, eyagala ateebwe. Kinajjukirwa ono ye musajja eyalabikidde mu katambi ka video nga akwatibwa abasajja ababadde n’emmundu mu ngoye ezabulijjo nga bamukubisa ebigala by’emmundu. Ono mutuuze w’e Bulamu ekisangibwa e Gayaza nga gyapangisa.
Sharifah Nakitende nga ono mwannyina wa Kawooya agamba nti batandise okunoonya Muganda waabwe kuba y’abadde alabirira abaana be kuba mukyala we yagenda ku kyeeyo. Bagamba nti baagezezaako okugenda ku e Kireka balabe oba omuntu waabwe gyali wabula nebabagobaganya.

About Mubiru Ali

Leave a Reply