Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 152 listening Simba FM Live

Abasuubuzi balaajana, emidaala gyabwe gikooneddwa – Jinja

September 19, 2016 · Mubiru Ali

Abasuubuzi abakolera mu katale ka Ambacort akali mu Divizone y’e Mpumude – Kimaka gebakaaba gebakomba oluvannyuma lw’emidaala gyabwe okukoonebwa ab’obuyinza mu Divizoni eyo nga bakuliddwamu Engineer Fred Muwoya .ย 

Ebimotoka bi weetiiye bitandise okusendawo emidaala gino ku maliiri ga leero nga abasuubuzi tebalina kyebamanyi ssinakindi nga n’abamu babadde bakyagalangatanya na biwanga mu maka gaabwe, wabula bagenze okutuuka nga bi weetiiye byeriisa nkuuli mu kusenda .

Omusasi waffe Solomon Baleke ayogeddeko n’abamu ku basuubuzi abakoseddwa nga bakaaba twawa nga ntulege .

Wabula mu kwogerako ne Engineer , Muwoya agambye nti yabadde atuukiriza ekyo ekyasalwawo mu lukiiko okuggyawo abatundira bweru w’akatale era obwo obuyumba n’emidaala ebyasendeddwa byabadde wabweru wa katale ย .