Omulwanirizi wEddembye lyobuntu Kakwenza Rukirabashaija wamu ne Ssuuna James Kiggala baddukidde…
Bano bagamba nti okusinziira ku ndabike kyeyoleka lwatu nti mulwadde muyi nga talina busobozi buteesa n’okukiirira abantu obulungi.
Bano bagamba nti okusinziira ku kawaayiro 2 ne 137 mu ssemateeka, ekyokuwandiisa omuntu alabikira ddala nti munafu nga Gen. Moses Ali okukwatira National Resistance Movement – NRM bendera kuba kulinyirira ddembe lya Bannayuganda eryokukiikirirwa wamu n’obukulembeze obulungi.
Bano baagala Gen. Moses Ali, NRM, Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda wamu Attorney General baveeyo bewozeeko.
Bano bagamba nti Moses Ali bweyali akwasibwa empapula ezokusunsulwamu nga 17-June-25, ku kitebe ky’Akakiiko ka NRM, Ssentebe waako Dr. Tanga Odoi yawalirizibwa ogutwalira Gen. Ali empapula mu motoka weyali atudde kuba yal
