Omulamuzi wa Kkooti ye Nakawa agaanyi okusaba kwomumyuuka…
Omulamuzi wa Kkooti y’e Nakawa agaanyi okusaba kwomumyuuka w’omwogezi wa National Unity Platform, Alex Waiswa Mufumbiro okwokweyimirirwa ku musango gwokukuma omuliro mu bawagizi ba NUP okutta abakuumaddembe.
Yadde nga abazze okumweyimirira Kkooti ebakirizza wabula omulamuzi takirizza kusaba kwe.
Waiswa asabye Bannakibiina obutaggwamu ssuubi okusigala nga balwanirira enkyuukakyuuka.
Olwaleero Bannakibiina nga bakulembeddwa LOP Joel Ssenyonyi bakutongoza okumunoonyeza akalulu nga taliiwo nga batandikira mu Mbuya 1.
#ffemmwemmweffe

