Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 176 listening Simba FM Live
News

NUP ewakanyizza enongosereza mu tteeka lya UPDF

August 13, 2025 · Mubiru Ali

Abakulembeze okuva mu National Unity Platform nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’Ekibiina David Lewis Rubongoya, Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi, Omumyuuka olwaleero batutte okwemulugunya kwabwe nga bawakanya enongosereza eza UPDF Amendment Act. Bano bagamba nti okugenda mu maaso nga bakyavunaanira abantu babulijjo mu Kkooti y’amaggye kwagobwa Kkooti Ensukkulumu nti nengeri enoongosereza zino gyezayisibwamu Palamenti teyali mu mateeka. NUP egamba nti etteeka lyayisibwa mu bumenyi bw’amateeka nga Palamenti yanyomoola akawayiro 92 mu Ssemateeka akagamba nti Palamenti teyise tteeka lyonna nga likyuusa ensala ya Kkooti.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe