Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Rogers Kinobe…
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Rogers Kinobe alonze olwa 22 – December ngolunako lwanaweerako ensala ye musango ogwatwaliddwayo Munnakibiina ki National Unity Platform Mathias Walukagga ngawakanya ekyakakiiko kebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda okumuwandula mu lwokaano lwabavuganya ku kifo ky’Omubaka wa Busiro East nga kagamba nti talina buyigirize bumala.
Bannamateeka ba Walukagga ne EC bonna babaddewo enkya yaleero mu Kkooti.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026

