Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 462 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Aba Opposition bebatambulira mu Drone nga bawamba abantu – Moses Ssimbwa

January 26, 2024 · Mubiru Ali
Moses Ssimbwa avuddeyo neyetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwakyayise okukonjera Gavumenti ye nti abakuuma ddembe baamutulugunya kyokka nga yali akozesebwa ab’oludda Oluvuganya Gavumenti.
Ssimbwa agamba bano baamulimbalimba nti bamutwala mu ddwaliro bamujjanjabe okugulu okumuluma nebamusuubiza ensi n’eggulu nga bamusaba agenda ku ttivi ez’enjawulo alumirize Gavumenti okumutulugunya ekintu naye kyeyakkiriza.
Wabula ono agamba nti amaze emyaka 3 nga yeekukumye okutuukiriza ebigendererwa by’aboludda oluvuganya Gavumenti wabula agenze okulaba ng’okugulu kuvunda kwekuvaayo yelwaneko. Ssimbwa era akikkaatirizza nti emmotoka ekika kya Drone abangi zebalumiriza okuwamba abantu zikozesebwa ba ludda luvuganya Gavumenti okuwambiramu abantu.