Omulamizi wa Kkooti ya Buganda Road Ritah Kidasa…
Omulamizi wa Kkooti ya Buganda Road Ritah Kidasa asindise Munnamateeka Hassan Male Mabiriizi ku alimanda oluvannyuma lwokumusomera emisango 4 okuli okwogera ebyakalebule wami nebigambo ebisiga obukyaayi ku Ssaabalamuzi omuggya Dr. Flavian Zeija.
Kigambibwa nti Mabiriizi yekwata obutambi ngavvoola Ssaabalamuzi Zeija ngomuntu abuzzaawo fayiro z’emisango omufere nga yatuuka nokwetundako ebibye byonna okusobola okulondebwa ngakulira Abalamuzi wamu n’ekido kya Ssaabalamuzi.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

