Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 557 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Daniel Mulirire abadde avuganya ku kifo kyOmubaka wa…

December 28, 2025 · Radio Simba

Daniel Mulirire abadde avuganya ku kifo ky’Omubaka wa Budiope East addukidde mu Kkooti ngayagala eyimirize ekiragiro ekyayisiddwa Akakiiko kebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda nga kamuggya mu lwokaano. Mulirire agamba nti yewuunyizza okukitegeerako nti Akakiiko katuula nga 18 November ku nsonga eno so nga ebbaluwa eyabaweebwa yali ya 23 November ngakiraga nti baali bakoze dda okusalawo nga tebanawulira ludda lwe.
Mulirire yabadde ennyo ku mbiranye nakwatidde ekibiina ki National Resistance Movement – NRM bendera ku kifo kino Moses Hashim Magogo. Akakiiko kalaga nti waliwo eyatwala okwemulugunya gyekali nga ye Ibrahim Yeko ngayita mu Bannamateeka be nga bano balina akakwate ku Sipiika Anita Annet Among ngono mukyala wa Magogo ngayagala Mulirire alage obukakafu nti weyewandiisizza yali amaze okulekulira mu Uganda Police Force.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026

Radio Simba News