Omukulembeze wa National Unity Platform, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti emyezi 2 egiyise yatoloka mu maka ge
🎵 Omukulembeze wa National Unity Platform, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti emyezi 2 egiyise yatoloka mu maka ge nagenda okwekweka era nga bamunoonyezza buli wamu ne mu maka gabanywanyi be ssaako n’abakulembeze wabula nga buteerere.
Agamba nti balumbye amaka g’Abakulembeze, basudde emisanvu mu makubo okukebera emotoka wamu ne piki piki nga batuuka nokugenda ku kyalo gyazaalwa nga namaka ge bakyagumbyeyo. Wabula wonna balemereddwa okumuzuula olwokuba Bannayuganda bamubuddamizza era nebamukuuma.
Olwaleero alangiridde nga bwafulumye Eggwanga okumala akaseera akatono abeeko ensonga enkulu zamaliriza n’oluvannyuma wakudda okwaboobwe e Uganda okwongera okulwanirira emirembe ne demokulasiya.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug
