Breaking
News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar News: Pulezidenti wEnsi ya Neyimbira Byange 2026 Zubeda Nalumansi Mukisa aka New Style akwasiddwa Piki Piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives, News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 363 listening Simba FM Live
News

KCCA muzzeeyo kasasiro wammwe – Mmeeya Fabrice

August 14, 2024 · Mubiru Ali
Mmeeya wa Entebe Municipality Fabrice Rulinda akulembeddemu Abakiise ku Lukiiko lwa Entebe Municipality okugaana ebimotoka bya kasasiro ebibadde byolekera e Nkumba okuyiwayo kasasiro.
Rulinda agamba nti endagaano eyakoleddwa wakati wa Kampala Capital City Authority – KCCA ne Katabi Town Council kukweyambisa ekifo ky’e Nkumba awayiirwa kasasiro si ntuufu. Ono agamba nti ettaka eriweza yiika 14 lwa Municipality yadde nga lisangibwa mu Katabi Town Council.