Olukiiko lwa Buganda lwennyamivu ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga
Olukiiko lwa Buganda olukulu lusabye gavumenti eya wakati okukola mu bwangu ku nsonga y’ettemu n’obutali butebenkevu ebisusse ensangi naddala mu bitundu by’Obwakabaka okuli e Buddu, Kyadondo, Mawokota n’ebirala.
Kino kimu ku biteeso ebiyisiddwa ng’ensonga eno ereeteddwa
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogera kwe alaze ennyike olw’abantu abangi abattibwa oluvanyuma lw’okuwambibwa ng’ate n’ensimbi bweziweebwa abawambi, bagenda mu maaso n’okutta bebawambye!

