BREAKING NEWS
Observer: Uganda makes cattle vaccination mandatory Observer: Ten new airlines eye Uganda’s skies Pulse Uganda: Supporters flock Kira Police to see Erias Lukwago MBU: King Saha backs Portugal for 2026 World Cup, wants Ronaldo’s farewell triumph MBU: Kuseim The Baddest, Ayo Bassboi, and Chemical Ali Nicer share their proudest productions Pulse Uganda: JK Kazoora on why Gen Muhoozi is losing social media race Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Abakozi ba Equal Opportunities Commission batwaliddwa mu Kkooti

Kkooti ewozesa abali b’enguzi n’obukenuzi mu Kampala yayisa ekiwandiiko bakuntumye eri Ssentebe w’Akakiiko ka Equal Opportunities Commission – EOC ku misango egyekuusa ku buli bw’enguzi n’obukenuzi.

Okusinziira ku mpapula z’emisango ziraga nti Mukyala Ntambi kati yegasse ku balala 9 okuva mu kitongole kyekimu nabo abavunaanibwa omwaka oguwedde wabula nebateeba ku kakalu ka Kkooti.

Okusinziira ku Kkooti bano bavunaanibwa emisango 25 egyekuusa kukulagajalira offiisi zaabwe nebaleetera Gavumenti okufiirwa ensimbi, okwekobaana okuzza emisango, obukenuzi, n’obuli bwenguzi.

Omulamuzi Omukulu Pamela Lamunu Ocaya yeyayisa ekiragiro kino ono okulabikako mu Kkooti nga 30 – September yewozeeko.

Muky. Ntambi avunaanibwa n’abalala okuli; Agnes Enid Kamahoro, 48, Senior Personal Secretary, Moses Mugabe, 38 Senior Monitoring and Evaluation Officer, Mujuni Mpitsi, 49 Secretary, Harriet Byangire, 37 Senior Accountant, Ronnie Kwesiga, 33 Acting Accounts Assistant, Evans Jjemba, 35 Principal Compliance Officer, Manasseh Kwihangana, 39 Senior Compliance Officer, Sarah Nassanga, 43 Office Attendant ne Nicholas Sunday Olwor, 51 Under Secretary.

Omuwaabi wa Gavumenti agamba nti Mukyala Ntambi yalagajjalira offiisi ye wakati wa July 2018 ne April 2019 ekyaviirako Gavumenti okufiirwa ensimbi.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply