Okwogera kwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II e Bugerere ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’ebyobulamu.

Okusookera ddala nsanyuse nnyo olwenteekateeka yomukolo gwa leero n’ebyo byonna ebikoleddwa abantu ab’enjawulo. Tusiimye nnyo bannaffe bonna abavudde mu bitongole eby’enjawulo ebitwegasseeko mu kuteekateeka olunaku lw’eby’obulamu era alobu a tubusiimye nnyo.
 
Nga eggwanga tukyalina entalo nnyingi zetulwana omwo nga mwemuli okukendeeza nokumalirawo ddala obwavu mu bantu baffe, ebbula lyemirimu mu bavubuka awamu n’okwesalirawo ku nsonga enkulu ezikwata ku ggwanga lyaffe. Wabula tetusobola kubituukako okujjako nga abantu baffe balamu ddala bulungi. Twagala nnyo buli omu afeeyo nnyo ku nsonga ey’okubeera n’obulamu obulungi, okugeza twagala abantu baffe okweyigiriza ensonga ey’okunaaba mu ngalo buli kiseera, okweyonja n’okuyonja amaka gaffe,okulya obulungi,okukola dduyiro, n’okwejjanjabisa buli kiseera. Ebyo byonna bikulu nnyo mu bulamu bwaffe.
Tusanyuse nnyo okuwulira nti ensonga y’obulwadde bwa siliimu nti esomeseddwa ku mukolo guno. Naffe twongera okuggumiza ensonga yeemu, tubakubiriza okwongera okwerinda siliimu, okwekebeza awamu n’okwejjanjabisa singa oli mulwadde.
 
Tuddamu okukowoola abavubuka baffe okukola ennyo n’okwenyigira ennyo mu byobulimi n’okusingira ddala okujjumbira okusimba emmwanyi kinnoomu ne mu bibiina by’obwegassi
 
Tulwanyise nnyo obwavu, tulwanyise endwadde tusobole okutuukiriza ebiruubirirwa byaffe.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply