Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Okunoonya akalulu k’ababaka wamu ne ba Mayor ba Municipalities empya kuzeemu ebbugumu

July 21, 2018 · Mubiru Ali

President Museveni avuddeyo neyenyigira mukunoonya obululu obunawanguza bannakibiina ba NRM mu district y’e Nebbi ne Apac mu kalulu akabindabinda mu Municipalities empya eza katondebwawo.

Mukunoonya akalulu yebazizza abantu olw’okuvaayo mu lwatu ne balonda ba ssentebe b’ebyalo nga ba NRM era nti NRM ekiririza mu buyinza okubeera mu mikono gy’abantu.

Yayongeddeko nti bwebaba baagala ebintu ebirungi okukolebwa mu bitundu byabwe, balina kulonda ba NRM abanasobola okubasakira okuva mu gavumenti bwatyo nabasaba okulonda Jovino Akaki mu Apac Municipality ne Hashim Suleiman mu Nebbi Municipality.