okuggala n’okutunda National Bank of commerce kwakolebwa mu ssaawa 6 zokka
Katuntu: Okugala wamu n’okutundibwa kwa National Bank of Commerce kwakolebwa ku lunaku lwerumu era nga kyatwala essaawa 6 zokka ekikontana nakawayiro 99(1) ne (2) FIA, 2004 akalagira Bbanka ya Yuganda enkulu okuyingira mu nsonga eno nga emaze kufuna kiragiro kya Kkooti (Winding up Order) era nga ekifulumizza ne mumpapula z’amawulire o9kumanyisa abantu bonna. Akakiiko ka COSASE kaakiraba nti kino kizibu okuteekebwa mu nkola.

