NWSC etandise okugezesa eddongosezo ly’amazzi e Katosi

EDDONGOSEZO LY’AMAZZI E KATOSI LIGEZESEDDWA:
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kazambi n’amazzi ekya

National Water and Sewerage Corporation – NWSC kitandise okugezesa Katosi Water Treatment Plant System.
Gavumenti ya Uganda nga eyita mu NWSC batandise okumaliriza emirimu ku ssengejero ly’amazzi e Katosi, mu Disitulikiti y’e Mukono.
Eno bwenaaba ewedde esuubirwa okufulumya liita z’amazzi obukadde 240 buli lunaku nga gasuubirwa okukozesebwa abantu obukadde musanvu n’ekitundu mu Disitulikiti okuli Kampala, Wakiso ne Mukono okutuusa mu 2040. Okusinziira ku NWSC Director Engineering Services, Eng Alex Gisagara, okugezesa kutandise.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply