Naffe tetumanyi Kyagulanyi gyali – Abafamire yOmubaka Nsanja
Naffe tetumanyi Kyagulanyi gyali – Abafamire y’Omubaka Nsanja
Abasirikale b’Eggye lya UPDF mu kiro ekyakeesa olwomukaaga balumba amaka g’Omubaka wa Ntenjeru North Patrick Nsanja agasangibwa ku kyalo Kirindi mu Gombolola y’e Nasigo mu Disitulikiti y’e Kayunga nebagafuuza nga banoonya Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine atamanyiddwako mayitire.
Kyagulanyi yakuba abebyokwerinda ekimooni nabatolokako okuva mu maka gge nga 16-Janaury abebyokwerinda bwebasalako amaka ge. Omubaka Nsanja omu ku Bannakibiina ki NUP abali ennyo ku lusegere lwa Kyagulanyi nti naye tamanyi omusajja gyali era nategeeza nti n’essimu ye bagirumika.
Ye muto wa Nsanja, Vivian Namakobe agamba nti abebyokwerinda webalumbira amaka gaabwe Muganda we yali taliiwo, era nebatandika okubakunya okubabuulira wa Kyagulanyi gyali. Isma Kulube nga naye muganda wa Nsanja agamba nti abamaggye bwebamala okulumba amaka nebatafuna kyebaagala ekimiirimiiri basalawo kukyemalako ngabakuba amasasi mu bbanga ssaako n’o


