Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,199 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Muwala wa Namasole agattiddwa mu bufumbo obutukuvu

August 9, 2019 · Mubiru Ali

Renah Nassuuna Muwala wa Namasole Najjemba Nakirijja, agattiddwa ne munne Kenneth Bbosa Kiyingi mu bufumbo obutukuvu mu Lutikko e Lubaga.

Kiyingi yaliko omubaka wa palamenti owe Mawokota, era Mutabani wa Kiyingi Bbosa.

Omusumba omuggya ow’essaza lye Masaka, Serverus Jjumba yaakoze omukolo ogw’okubagatta.

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abagole okunywerera ku bintu ebibatwala mu maaso kibayambe okunyweza obufumbo bwabwe. Omukolo gwetabiddwako Namasole Margaret Siwoza, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwannyammuli Ssemwogerere, n’abakungu abalala bangi.