Munyagwa abotodde ekyama ku bwa Meeya
Omubaka wa Palamenti owa Kawempe ey’amaserengeta Mubarak Munyagwa abikkudde ekyama ekyamusobozesa okuweereza mu kifo ky’obwa Meeya bwa Kawempe obulungi wakati mu kuba nga olukiiko lubadde lusingako ba Kansala ba NRM .
Munyagwa agamba nti eky’okuba ow’oludda oluvuganya gavumenti yali akimanyi nti ba Kansala ba NRM tebamwagala naye yali mumalirivu okukolera awamu nabo anti agali awamu ge galuma ennyama .
Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze ba Kawempe omuli Meeya omuggya Sserunjogi wamu ne ba Kansala eggulo .

