Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 375 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abasuubuzi mu katale k’e Kasubi bakalambira okudda e Namungoona

May 1, 2018 · Mubiru Ali

Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Kasubi mu Divizoni y’e Lubaga batiisatiisizza okuguguba okugenda mu kifo ekirala ekisangibwa e Namungoona KCCA gyeyabagulira ettaka kwebalina okuteeka akatale kisobozese okukola oluguudo oluva e Bakuli okudda e Kasubi

Bano bakalambira nti oluguudo olugenda mu kifo gyebatadde akatale kaguudo katono nnyo nga kiyinza n’okubaviirako obufuna ba kkasitoma okukkakkana nga baviiriddemu awo ng’ayokya omusota.

Kiri mu nteekateeka za KCCA okuddaabiriza oluguudo oluva ewa Bakuli okudda e Kasubi (Hoima road) era nga kino kyatandika dda nga mu buli ngeri akatale kano kaba kalina okuggyibwawo kadde mu kifo ekirala wabula nga bo abasuubuzi mu katale kano bagamba nti akatale kano kasaana kusigala mu Kasubi omwo mwennyini kubanga ababagulako mwenamanyi.