MUGAMBE MINISITULE ETUSASULE SSENTE ZAFFE

Abasawo mu Ddwaliro ekkulu e Masaka balajjanidde ababaka ba Palamenti okubayambako boogere ne Ministry of Health- Uganda babasasule ssente zaabwe.
Bino abasawo nga bakulembeddwamu musawo Awuma Winfred bategezezza ababaka abali ku kakiiko ka COVID-19 ababadde balambula amalwaliro mu Greater Masaka okulaba engeri abasawo mu Malwaliro gyebalwanyisizzaamu ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe owa COVID-19.
Musawo Awuma ategezezza Ababaka nti mu mwezi ogw”okuna mu mwaka 2020 yakulemberamu basawo banne okugenda e Mutukula ku nsalo eyawula Yuganda ne Tanzania okuyambako ku balwadde bekirwadde kya COVID-19 abaali basusse obungi era nebasuubizibwa okuweebwa ensako yaabwe wabula buli nakati tebazifunangako.
Bano balumirizza akulira eby’obulamu mu Disitulikiti y’e Kyotera (DHO) Muwanga nti yalemedde ssente zaabwe wano.
Wabula akulira Eddwaliro ekkulu e Masaka Dr. Onyaki Nathan agamba nti kituufu abasawo bano babanja ssente

Add Your Comment